Abange Baabula Dda歌词由Travelhights&Spyda Mc演唱,出自专辑《Abange Baabula Dda》,下面是《Abange Baabula Dda》完整版歌词!
Abange Baabula Dda歌词完整版
Akadde ko kakyuuka, buziba bukya
Wekatuukira buli omu abaako gyekamusanga
K’obe mu nnamunkanga ojja kulandinga
Abadde omulwadde yooyo anigiina?
Eriiso olutemya ebya mukama tomanya
Teweenenya olw’embeera y’ensi kiremya
Abo bonna abakutega obutego okukulemya
Kaseera buseera, nyweera toseerera
Bakeera bukeera okuyiiya okukungula
Ensi gy’olaba epima, byonna by’okola eraba
Taayiza ebbala nebweekigaana okanya funya
Ssinze asoose okuba nga bwendi
Ninze kisima lwekijja kikube koodi
Once mwana wa ghetto kati nfuuse omuloodi
Mala galeka, nze ndi mwana mulekwa
Birooto bya kukyusa mbeera mwennakulira
Ssirina maama
Ssirina taata
Ssirina maama
Ssirina taata
Abange baabula dda
Abange baabula dda
Ssimanyi oba baafa nadda
Ssimanyi oba baafa nadda
Bulamu n’okufa balongo batambula batyo
Kenkuze nkizudde njize
Essanyu ne munnaku ensi esigala eyimiridde
Yye abange baddawa eyo? Bweneebuuza!
Nninze mukisa bwekiribwatuka eyo ewaka
Kkirira emmanga mu Katanga
Katonda gyatugattira amawanga
Omuwanga, street mental bwe bakkanyu
yakuwunga.
Vva ku nsi eno etuwunza, etuzunza
Vva muno, dda muno etuyuuya
Ankubirizza Katanga anjigirizza
Obuteeganya kkola, kwekaluubiriza
Kinnumiriza kuba mbasubwa
Naye street yanjigiriza obuteekaabya
Obulumi bwange munda mutima kwenjigira
Neneegumya bwe neebuza bakyanzijukira.
Ssirina maama
Ssirina taata
Ssirina maama
Ssirina taata
Abange baabula dda
Abange baabula dda
Ssimanyi oba baafa nadda
Ssimanyi oba baafa nadda
Oyitangayo mu Katanga n’ondabako
Bwobanga oyiseeko mu kibuga
Ondeeterangayo ku kamere nendyako
N’akagoye akokwambala, eno empewo efuuwa nnyo.
Nyumba ya kyuma yadde nsula mu bwa ttaka
Era ndi mutaka agoberera amateeka
Seesesasesa nawatali nsonga
Kuba amaziga geegasinga gyenva eyo emmanga.
Anaatutangira shida eno mukatanga
Nkyamusuubira ngakanula ssimulaba
Naabatusuubiza ottusalako babeeko kyabakolawo
Bwebatusuubiza tebadda
Call Answer
Ssirina maama Gyeyasonga saamanya
Ssirina taata Nooyo gyeyadda saageera
Ssirina maama Gyeyasonga saamanya
Ssirina taata Nooyo gyeyadda saageera
Abange baabula dda
Abange baabula dda Nnonya, nkyanoonya
Ssimanyi oba baafa nadda Nnonya, nkyanoonya
Ssimanyi oba baafa nadda Nnonya, nfeffetta
It’s an Itals Producshizo
My man Piusounds
Spyda MC
From Katanga to the world
From where you maybe
Find sometime and come visit the Katanga Slums
Show some love… Yeah